
Owakasolya
Omutaka Ggunju Matia Kawere
Owaakasolya aliko kati ye Ggunju Matia Kawere omusomesa omutendeke.

Obutiko Clan
Home / About

Owakasolya
Owaakasolya aliko kati ye Ggunju Matia Kawere omusomesa omutendeke.

Omukulu Owekika
Omutaka Matiya Kawere (Ggunju XXV)

Katikkiro Wekika
Ssemugoma Godfrey Bafirawala

Omumyuka Wa Katikkiro
Dr. Daniel Nkaada

Clan Envoy (Omubaka W'Omutaka Mu) UK & Ireland
Daudi Mugwanya
The Clan of the Mushroom (Obutiko Clan) has its ancestral seat in Bukalango, Busiro, with the head of the clan being Mutaka Ggunju. The origin of the clan is on Wagaba Hill, located in Wagaba, Busiro.The current head of the clan is Mutaka Matiya Kawere (Ggunju XXV). The clan's Prime Minister (Katikkiro) is Mr. Godfrey Bafiirawala Ssemugooma, and the Deputy Prime Minister is Dr. Daniel Nkaada.The clan colors include white (Enjeru), light grey (Kiragala), sky blue (Bbululu ow'obwengula), and earth brown (Kitaka) — all of which carry deep symbolic and cultural meaning. The clan has three main colors, each bearing messages and hidden histories significant to members of the Obutiko clan.The Obutiko clan participates in the Council of Tradition (Lukiiko lw'Ennono) and is the custodian of the maggunju dance drums.
Ekika ky'Obutiko kikkadde nnyo mu Buganda era ky'ekimu ku bika ebyakiika mu lukiiko olw'e Nono e Magonga mu busujju. Ebyafaayo ebisinga obukakafu biraga nti ekika ky'obutiko kyatandika ngakiva mu kika ky'Envuma nga eno y'ensonga lwaki ebika bino byombi bigabana agamu ku mannya agatuumwa abazzukulu. Kinonoozebwa nti waaliwo omukulu w'ekika ky'Envuma eyasuubiza okugabula abaana ne bazzukulu be ekijjulo kyokka nafa nga tatukirizza kisuubizo kye kino wabula weyaziikibwa ku kijjaakye nekumera obutiko Obubaala. Abaana n'abazzukulu bayawukana abamu abakulirwa Ssekajja balowooza nti obutiko ky'ekijjulo Jjajjabwe kyabagabudde era ne babujja (okubukuula) ne babuffumba ne babulya. Abaana n'abazzukulu abalala baagaana okulya Obutiko buno nga bagamba nti engeri gyebumeze ku kijja kya Jjajjaabwe, oyo Jjajjabwe yennyini era tebasobola kulya Jjajjabwe. Okuva olwo bano bagaanira ddala okuddamu okulya obutiko obubaala era negufuuka omuziro gwabwe. Enjawukana eno eyabenvuma nab'obutiko nkaddennyo era ebyafaayo ebinyweevu biraga nga yali ku bizinga kati ebikola essaza lye Ssesse.
Soma kubikwata ku kika kino okuva mu bantu
Browse real stories and records published for the clan you select in the header.